Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 595 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akomezza olutalo olumaze kumpi…

January 5, 2026 · Radio Simba

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akomezza olutalo olumaze kumpi emyaka 20 nga abatuuze mu Kasokoso babadde basulirira kusengulwa. Pulezidenti ategeezezza nti bano basobola okusigala ku ttaka lino nebalikulaakulanya era nebafuna n’ebyapa ebiraga obwannannyini.
Pulezidenti yalagidde nti ekitongole kya @National Housing and Construction Company eweebwe ettaka eddala eve ku yiika zino 400 zekayanira n’abatuuze.
Museveni yategeezezza nti enkayaana ku ttaka lino yazitegeera bweyali alambula ebitundu ebyenjawulo okulondoola enkola ya PDM mu November 2025, nanenya nnyo Abakulembeze ku ludda oluvuganya Gavumenti beyagamba nti tebafaayo ku bantu bebakiikirira nabasaba okulonda aba National Resistance Movement – NRM basobole okufuna obukuumi ku byabwe wamu n’obuweereza.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains
#UgandaDecides

Radio Simba News