Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 301 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni afundikidde okunoonya akalulu mu…

November 22, 2025 · Radio Simba

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni afundikidde okunoonya akalulu mu bitundu by’e Busoga ngeno abaayo yaboolese ebirungi Gavumenti ye byetuuseeko n’ensonga lwaki balina okubikuuma. Mu bimu ku byeyanokoddeyo kuliko; ebyokwerinda n’obutebenkevu, enguudo n’amakolero wamu ne bonna bagaggawale.
Museveni yategeezezza nti bwotunnuulira enkulaakulana Busoga gyetuuseeko eyoleka bulungi empagi National Resistance Movement – NRM kwezimbidde Uganda.
Yayongeddeko nti Gavumenti ye yalwana nnyo okulaba nti emirembe gibukala mu Uganda yonna okugeza nti ekitundu kya Busoga ekyali kirumbiddwa abayeekera ba Alice Lakwena nga bano baali batuuse e Magamaga ne Busede kati embeera yatereera.
Yayogedde ku nguudo ezidaabiriziddwa okuli olwa; Jinja–Tororo, Jinja–Kampala ne Jinja–Kamuli. Wano weyasinzidde okulangirira nti ensimbi ezokuzimba oluguudo lwa Jinja–Budondo–Mbulamuti–Kamuli bwezafunise.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains

Radio Simba News