Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live
News

Pulezidenti wa UNF Babirye ayimbuddwa

May 17, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti wa Uganda Netball Federation (UNF), Babirye Kityo Sarah eyasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira nga 15-May ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju obukadde 16 ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti olunaku olwaleero.
Kityo omutuuze w’e Bukasa mu Wakiso asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ne munne Zainab Namutebi 40, bwebavunaanibwa bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka kakadde 1 akobuliwo buli omu ate ababeyimiridde buli omu obukadde 4 obutali bwabuliwo.
Omulamuzi w’eddaala erisooka, Siena Owomugisha alabudde Kityo ne Namutebi obutagezaako kwebulankanya kulabikako mu Kkooti kuba bajja kuddamu bakwatibwe basasule buli omu obukadde 10 wamu n’okusibwa.
Bano bakudda mu Kkooti nga 6-June.