Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 446 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu…

December 15, 2025 · Radio Simba

Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine atuuse ku Bulange okusisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne ba Minisita ba Kabaka okubanjulira enteekateeka ze mu kaweefube gwaliko ow’okunoonya akalulu ku bukulembeze bw’eggwanga.
Ayaniriziddwa Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko. Kyagulanyi awerekeddwako akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Joel Ssenyonyi, Hon. Muwanga Kivumbi, Hon. Abdullah Kiwanuka Mulimamayuuni, Eugenia Nassolo, Hon. Florence Namayanja, n’abakulembeze abalala.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
#protestvote2026
#UgandaDecides2026
#PeoplePowerOurPower

Radio Simba News