Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 491 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Pulezidenti wa Malawi agobye olukiiko lwa Baminisita

May 18, 2019 · Mubiru Ali

Pulezidenti wa Malawi Arthur Peter Mutharika 78, yagobye olukiiko lwe olwa Baminisita nga beteekerateekera akalulu k’obwa Pulezidenti akagenda okubaawo ku lw’okuna lwa wiiki ejja.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa kyategeezezza nti omukulembeze w’eggwanga asazeewo okwezza obuyinza bwonna nti era nga kati buvunaanyizibwa bwe okuddukanya emirimu gyonna nga akulembera eggwanga.

Pulezidenti Mutharika Munnakibiina kya Democratic Progressive Party (DPP) wakuddamu okwesimbawo ku kisanja ekirala nga avuganya n’omumyuka we Saulos Chilima, n’abalala babiri okuli Lazarus Chakwera ne Atupele Muluzi.

Babiri ku bano abasimbyewo Baminisita be ku kabineti ye.