Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 516 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Pulezidenti wa DRC ategeezezza nga bwagenda okuzimba ekikomera ku nsalo ya DRC ne Rwanda

October 30, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti wa Democratic Republic of the Congo, Felix Tshisekedi alangiridde nti agenda kuzimba ekikomera ku nsalo yaabwe ne Rwanda amawanga gano geyawule bulungi okusobola okutaasa abantu be ku bayeekera ba M23.
Ono agamba ekimuwalirizza okusalawo bwatyo kwekuba nti Rwanda evujjirira abayeekera ba M23 n’ekigendererwa eky’okutabangula DR Congo n’okugibba wabula bino Rwanda ebyegaana.
Tshisekedi agamba abasinga baagala DR Congo ne Rwanda bakolagane bulungi nga ab’oluganda naye tekisoboka kubanga Rwanda erina n’enkwe enyingi.
Okwogera bino Tshisekedi yasinzidde Congo Brazzaville ku lw’omukaaga mu lukungaana lw’Amawanga agasinga okubaamu ebibira eby’amaanyi.