Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 178 listening Simba FM Live

Pulezidenti Museveni yalagidde buli eyennyigidde mukumenya ekkanisa akwatibwe

August 11, 2020 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero ategeezeddwa kukumenyebwa kw’ekkanisa ya St. Peter’s mu Ndeeba era bwatyo nalagira akakiiko akateekebwawo okulwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda okukwata abali mu bitongole byonna ebyenyigidde mu kumenya ekkanisa eno.
Abakwatiddwa kuliko Acting KCCA Director Physical Planning Mr. Katongole Ivan n’abasirikale ba Uganda Police Force 3 okuli;
1. DPC Katwe, SP Epedu David
2. OC Station Ndeeba Police Station, ASP Mugira Yeko Kato
3. Field Force Unit (FFU) Commander KMP/South Region, ASP Isabirye Kaloli