Pulezidenti Museveni ne Mukyala we bagemeddwa COVID-19

PULEZIDENTI MUSVENI NE MUKYALA WE BAGEMEDDWA COVID-19: 
Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo nayozayoza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Mukyala we Janet Kataaha Museveni olwokugemebwa ekirwadde kya #COVID-19 nga bakubiddwa eddagala lya AstraZeneca.
Mu kwogerako eri eggwanga nga 15-March Pulezidenti Museveni yavaayo nategeeza nga bweyali akyetegereza eddagala erigema COVID-19 okulondako liriwa eriba limukubibwa wadde nga yali amaze okusalawo nti Bannayuganda obukadde 22 bagemebwe ne AstraZeneca. https://youtu.be/VKgo6YHTEjU

Leave a Reply