Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 871 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Pulezidenti Museveni ayongedde okukaluba ku nvuba embi

April 17, 2018 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti waakuggya amagye mu kulwanyisa envuba embi singa amavubi banaalekeraawo envuba emenya amateeka.

Omukulembeze okwogera bino,  kijjidde mu kiseera nga okwemulugunya kusukkiridde mu bavubi nti amagye ku nnjanja gasukkiridde okukubi abavubi, okwokya amaato wamu n’obutimba bw’abwe

Yoweri Kaguta ayongeddeko nti Bannayuganda babaliisa obwennyanja obuto ekiviiriddeko eggwanga okufiirwa obuwanana bw’ensimbi era nga okwogera bino Pulezidenti yasinzidde gw’okwebaza ogwa omubaka mu Palamenti owa Bukooli ey’amasekkati , Solomon Sserwanyi ogwabadde mu Disitulikiti y’e Bugiri ku ssomero lya Isakabusolo Primary School.