Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 205 listening Simba FM Live

Pulezidenti Museveni ayanukudde Zaake

August 27, 2020 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayanukula omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi nagamba nti: “Zaake n’abalala abatono kibinja ky’abantu ekibuziddwabuziddwa nga bakozesebwa abagwira okutabangula Yuganda okumala emyezi egiwerera ddala. Pulezidenti alaze nti bano batuuka n’okwonoona ebintu mu Palamenti ne balinnya ku mmeeza. Mu Arua Pulezidenti agamba nti bano era balumba abawagizi ba National Resistance Movement – NRM nebakuba n’emotoka ye ejjinja, bateeka tinga tinga mu kkubo nga baagala okutomera emotoka ze wabula SFC nekozesa Helicopter okumuggyawo oluvannyuma banoonya abakulemberamu bino okwali Bobi Wine, Zaake n’abalala bano nebagezaako okukuba abasirikale ebikonde nga balowooza balwana nababbi b’okukyalo. Omuntu omu yafiira ebweru wa wooteri.
Bano balina ebibinja bakwatagana n’abagwira bawe ebibinja emmundu bitte abekalakaasa bagambe nti Gavumenti yebatta.
Bino tubilondoola n’obwegendereza, mujjukira aba Piki piki abatta Abiriga, Kirumira ne Kiggundu n’abalala twabazikiza.”