Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 133 listening Simba FM Live

Pulezidenti Museveni awagira ekya Police okukuba abantu emiggo

August 1, 2016 · Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni asiimye eky’abaserikale ba Police okukozesa emiggo okukuba abantu ababa batandise ebikolwa ebyokwekalakaasa n’obumenyi bw’amateeka ate nebagezaako n’okulwanyisa abaserikale ba Police.

Okwogera bino yabadde aggulawo olusirika lwa ba Minisita n’abawandiisi ab’enkalakkalira mu zi Minisitule ezitali zimu ogubadde guyindira e Kyankwanzi ku ttendekero ly’obukukembeze, agamba nti kiba kigwanidde okubagolola ettumba wabula sikirungi kutwaliramu abo abatalina mutawaana.

“Ab’oludda oluvuganya Gavumenti bangi ba Cecilia Ogwal, ba Mao, aba UPC nga bbo tebeekalakaasa  naye Besigye talina mpisa ate mumenyi wa mateeka “ Museveni bw’agamba.

Wabula alambuludde obukodyo obulala Police bweyinza okukozesa okugumbulula a beekalakaasa omuli ; Okukuba Bbattuuni, okubafuuyira amazzi ate n’omukka ogubalagala.