Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 805 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Pulezidenti Museveni atongozza ekifo webatendekera eggye lyo ku mazzi e Ntokolo

October 29, 2023 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yatongozza Ntokolo Marine Pier eyazimbiddwa UPDF Engineers Brigade. Yebazizza Marine Brigadde olwokuzimba eggye lyokumazzi eryatandika nga ttono naye nga kati likuze nga kino kyeyolekera ku bifo awatendekerwa ebyakazimbibwa okuli Butyaba, Entebe ne Ntokolo. Pulezidenti yategeezezza nti eggye lyo ku mazzi lya mugaso nnyo mu kukuuma eggwanga ku mazzi kuba ebitundu 20 ku 100 ebya Uganda mazzi era nga ensalo zaayo n’amawanga okuli; Tanzania, Kenya, ne Congo ezimu ziri ku nnyanja nga Albert, Edward ne Vitoria nga kino kireetawo okusoomoza okwamaanyi mu byokwerinda.