Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Pulezidenti Museveni asisinkanye Gen. Fattah owa Sudan

July 5, 2019 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero asisinkanye Bammemba b’akakiiko k’amaggye aka ‘Sudan Transitional Military Council’ nga bakulembeddwamu H.E. Gen. Abdel Fattah Al-Burhan e Mbale ku State Lodge.
Bano bamunyonyodde ku mbeera eriwo mu Sudan era neboogera ku ngeri gyebayinza okukolaganamu okusobola okuzzaawo eddembe mu Sudan era Pulezidenti Museveni neyeyama okubayamba.
Pulezidenti Museveni ategeezezza nti embeera y’obusambattuko ebaddewo mu Sudan si nnungi kuba etiisa bamusigansimbi wamu n’okunyigiriza abantu babulijjo.
Abajjukizo nti embeera eri e Sudan yaliko mu Yuganda era obudde bungi obwayononebwa, bwatyo nabategeeza nti enkola esinga yakukiriziganya nebayita mu nkola ya demokulasiya.