Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 307 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Pulezidenti Museveni alonze mutabani wa Oulanyah okukwatira NRM bendera

April 20, 2022 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nga ye Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM yalagidde nti bendera ya NRM ekwasibwe Andrew Ojok Oulanyah mutabani wa Sipiika Jacob Oulanyah mu kalulu kokujjuza ekifo ky’omubaka wa Omoro.
Kigambibwa nti kino kyadiridde ababadde begwanyiza ekifo kino wamu n’abakulembeze ba NRM mu Omoro okulemererwa okulondako ani aba akwatira ekibiina bendera. Abantu 6 nga kuliko; Ssentebe wa Disitulikiti y’e Omoro Douglas Peter Okello, Andrew Olal, Francis Rwotlonyo, Richard Bongowat Luganya, ne Ben Acellam.
Famire ya Oulanyah yali yavaayo nesaba nti Mutabani we Ojok 32, yaba aleetebwa nga tavuganyiziddwa amaleyo ekisanja kya kitaawe wabula nekiwakanyizibwa abamu ku baali begwanyiza ekifo kino mu NRM.
Mu lukiiko olwatudde ekiro ekikeesezza olwaleero wakati wabegwanyiza ekifo kino ne Pulezidenti Museveni, kigambibwa nti yalagidde abalala bonna okubiggyamu enta balekere Ojok. Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda kataddewo olwa nga 26-May-2022 ng’olunaku lwebagenda okulonderako.