Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 255 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Pulezidenti Museveni alagidde Minisita Kataaha obutakiriza kuwandiisi ttendekero lya Idi Amin Institute

October 29, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nawakanya ne ssekuwakanya ekyokuwa ettendekero lya Idi Amin Institute nga lino lyakutumbula emirimu egyakolebwa eyaliko Pulezidenti wa Uganda Field Marshal Idi Amin Dada Oumee nga okusaba kuno kwakoleddwa eyaliko Omubaka wa Obongi County Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Hon. Fungaroo Kaps Hassan.
Pulezidenti Museveni agamba nti Gavumenti ya Amin teyaliiwo mu mateeka era yali emenya ssemateeka okusinziira ku ngeri gyeyaggyamu mu buyinza.
Ono alagidde Mukyala we nga ye Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’emizannyo Hon. Janet Kataaha Museveni obutakiriza ttendekero lino kuwandiisibwa nga agamba nti Amin yatta abantu bangi nnyo okugeza abasirikale aba Lango n’Abacholi nga bano yabattira Mbarara, abasibe beyattira mu kkomera e Mutukula, okutta Ben Kiwanuka, Bantaringaya ne Mukyala we n’abalala.
Ono ayongerako nti Amin yasuula ebyenfuna by’eggwanga bweyakola okusalawo nga talowoozezza nagoba Abayindi abadduka nebagaggawaza Canada ne Bungereza.
Mu bbaluwa ye agamba nti tekisobola kukirizibwa kuwa layisinsi ttendekero ligenda kusomesa mirimu gyakolebwa Idi Amin, nti era kimala olwokuba nti Bannayuganda basonyiwa banne ba Amin abakyali abalamu, ebyo ebyafaayo bye byo ka byerabirwe.