Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 254 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Pulezidenti Museveni alagidde Ababaka Muwanga ne Luttamaguzi bakwatibwe

May 17, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nawandiikira Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister namulagira okulaba nti Ababaka okuli; Hon. Muwanga Kivumbi owa Butambala County ne Hon. Luttamaguzi Ssemakula owa Nakaseke South bakwatibwa singa bagenda mu maaso nokwogerera enkola ya Parish Development Model ebikikinike ku mayengo g’ebyempuliziganya. Bano banokoddwayo mu alipoota nga abamu ku balwanyisa enkola eno.
Pulezidenti asabye Hon. Galabuzi ne Hon. Magyezi, ba RDC wamu n’Abakulembeze abalala okuvaayo okwanukula obulimba bw’Ababaka bano n’amazima. Naye singa Ababaka bano bakuma omuliro mu Bantu okutwala ssente zino naye bagaane okuzisasula olwo bakwatibwe bavunaanibwe kuba Luzira tanajjula.