Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 267 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Pulezidenti Museveni akungubagidde eyaliko omubaka wa Kassanda

September 4, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakungubagidde Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM eyaliko Omubaka wa Kassanda North Ssalabaya Henry nategeeza nti ono abadde mwoyo gwa Ggwanga.
Mu mubaka bwe obwasomeddwa Minisita Judith Nabakooba, Pulezidenti yategeezezza nti omugenzi abadde muwagizi wa NRM lukulwe ngayagala nnyo ebyobulimi. Mu 2008 bweyali akyali mubaka wa Palamenti yaleeta ekiteeso mu Palamenti ngayagala essomo ly’ebyobulimi lifuulibwe lya buwaze mu masomero ga Secondary era yeyakwata omumuli gwokulima emmwaanyi mu Disitulikiti y’e Kassanda, Pulezidenti yakuutidde abaana b’omugenzi okutwala mu maaso byatamalirizza bewale n’obukuubagano mu famire.
Yabawadde amabugo ga bukadde 10 okuyambako mu kuziika. Ssalabya yafudde kirwadde kya kkookolo ekyakosa ebitundu byomubiri ebiwerako nga yafiira mu Ddwaliro e Nsambya nga 31.
Ye Minisita Nabakooba yategeezezza nti omugenzi abadde afaayo era ngayaniriza buli omu, ngokusingira ddala abadde ayagala nnyo ekibiina kye ekya NRM. Yategeezezza nti okusaba kweyakola eri Pulezidenti okwokubakolera oluguudo lwa Bukuya – Kassanda mu 2018 bweyasisinkana Pulezidenti, nti kikolebwako.