Pulezidenti Museveni akukulumidde abasse Abiriga; mujja kusasula namusaayi

Pulezidenti Museveni akukulumidde abatta abantu abatalina musango era nabategeeza nti bayiwa omusaayi naye nabo bajja kusasula namusaayi. Bino abyogedde bwabadde ayogerako eri abantu olunaku lwaleero mu kukuza olunaku lw’abazira e Birembo mu Disitulikiti ye Kakumiro.

Pulezidenti era asabya Bannayuganda bonna okuteeka obuuma obuketta mu biduka byabwe okusobola okuyamba ebitongole ebikuuma ddembe singa wabaawo obuzibu okusobola okubizuula. Era ayongeddeko nti abo abatemudde Ibrahim Abiriga bajja kukwatibwa nga Gavumenti bweyakola ku bayekera ba ADF.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Omusajja atemyeko munne omutwe naye nebamutemako ogugwe