Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 771 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Pulezidenti Museveni agumbye Karamoja

June 9, 2022 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni omuduumizi w’eggye lya UPDF owokuntikko wiiki eno asazeewo kukuba nkambi mu Karamoja Region okutunuulira embeera yebyokwerinda naddala obubbi bw’ente.
Pulezidenti Museveni agamba nti abatamanyangamba bano bazze bakyuusa enkola mwebayita okulumba okubba ente omuli okukozesa emmundu, obusaale, emiggo wamu n’okufuna bebakolagana nabo. Agamba nti bano tebakomye kukubba nte zokka wabula batta abantu, basobya ku bakazi n’abaana wamu n’okutaataganya emirembe mu Karamoja.
Olunaku lw’eggulo Pulezidenti Museveni olunaku lw’eggulo yasisinkanye abebitongole byebyo kwerinda okuli aba; UPDF, Police, RDCs, aba ISO n’aba Uganda Wildlife Authority ku mbeera yebyokwerinda mu Karamoja nga kituuse ne mu bitundu ebirala okuli; Teso, Bugisu, Sebei nekumuliraano e Kenya, bino byonna byabadde mu State Lodge e Kapchorwa.