Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 176 listening Simba FM Live

Pulezidenti Museveni aguddewo akatale ke Kasubi

August 5, 2020 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero atongozza okuzimba emyala ebiri mu Lubigi ne Nakamiro nga kigenda kutwala emyezi 12 okumaliriza omulimu guno nga emyala bweginaaba giwedde gyakukendeeza ku kwanjaala kw’amazzi mu Kawempe ne Bwaise.
Mu ngeri yemu era aguddewo akatale k’e Kasubi akapya akazimbiddwa nga kano kakukoleramu abasuubuzi abasoba mu 1400 nga kati kalimu abantu 800 olw’ekirwadde kya #COVID-19. Pulezidenti Museveni asabye abo bonna abakolera ku nguudo okugenda mu katale munda.
Ku kirwadde kya COVID-19 Pulezidenti akubirizza abantu okugoberera ebiragiro ebyateekebwa kuba obulwadde buno butta nga kati abantu 5 bebakafa mu Yuganda.