Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 226 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Pulezidenti Museveni abantu yabasinga era akyabasinga – Hajji. Kigongo

July 24, 2017 · Mubiru Ali

Amyuka Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu ggwanga, Haji Moses Kigongo agamba nti abawakanya eky’okuggyawo ekkomo ly’emyaka gy’omukulembeze w’eggwanga kwalina okukoma okukulembera eggwanga tebalina mutima gwagaliza Yuganda. 

Kigongo agamba nti Yuganda ekyetaagira ddala nnyo Pulezidenti Museveni songa n’abakiwakanya balina okumanya nti obukulembeze buva eri Katonda. 

Hajji.  Kigongo okwogera bino yabadde mu lukungaana lwa bannakibiina kya  NRM gyebaakungaanidde okuwanda eddusu ku abo abagenda okwesimbawo ku kaada y’ekibiina kya NRM okuvuganya ku kifo ky’ababaka abakiikirira abaliko obulemu mu Palamenti ya y’eggwanga.