Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 174 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Pulezidenti asaana ayanguwe okulonda ba memba b’akakiiko k’ebyokulonda – Babaka mu Palamenti

November 16, 2016 · Mubiru Ali

Ababaka mu Palamenti baagala Pulezidenti Museveni mu bwangu ddala obw’ekitalo alonderewo  ba memba b’akakiiko k’ebyokulonda abapya oluvannyuma lw’ekisanja ky’akakiiko akabadde kakulemberwa Eng. Dr. Badru Kiggundu okuggwako.

Bino webijjidde nga olunaku lw’eggulo akakiiko kano akabadde kakulemberwa Eng . Badru Kiggundu kaakoze omukolo ogw’okuwaayo obuyinza naye nga  yaafeesi bagiwaayo mu butongole ku lwokuna lwa ssabbiiti eno oluvannyuma lwobuweereza obw’emyaka 14 be ddu.

Ababaka bagamba nti akakiiko  kasaanye okulondebwa amangu kasobole okutegeka okulonda okwa zi Municipaali empya ate okwo gattako n’okuddamu okw’okulonda ababaka abo abanaaba abaggyiddwayo mu Palamenti olw’emisango egy’ebyokulonda egigenda mu maaso mu kkooti ejulirwamu .