Pulezident Mnangagwa asimattuse okuttibwa

Agava mu Harare Zimbabwe galaga nga Pulezident Mnangagwa Emmerson bwasimattuse okuttibwa mu bulumbaganyi bwa bbomu mu kibuga Bulawayo. Okusinziira ku mawulire ku mukutu gwa TV ogwa Zimbabwe ogubadde guweereza emikiro okuva mu White City Stadium kigambibwa nti mubulumbaganyi buno abayambi b’omumyuka w’omukulembeze 2 bafiiriddewo era nga n’abalala balumiziddwa omuli ne Political Commissioner Rugeje.

Omwogezi wa Gavumenti avuddeyo nategeeza nga Pulezidenti Mnangagwa bwali mubeera ennungi era nagumya abantu ba Zimbabwe.

Ono abadde ayogerako eri abawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya ZANU-PF.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
E namboole teri byabufuzi – Poliisi