Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 328 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Prossy Agaba nga mutuuze we Mbuya, Nakawa Plot 55 ne 56 Ismael Road avuddeyo nalajjanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo ayingire mu

July 15, 2026 · Radio Simba

🎵 Prossy Agaba nga mutuuze w’e Mbuya, Nakawa Plot 55 ne 56 Ismael Road avuddeyo nalajjanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo ayingire mu nsonga zaabwe ezetteka. Agaba agamba nti waliwo Munnansi wa Buyindi akolagana ne Uganda Police Force ayagala okubatwalako ettaka lyabwe kwebamaze emyaka 20.
Ono alumiriza Abasirikale okuva ku Poliisi ya Jinja Road okukulemberamu Bakifeesi 100 nebalumba amaka gaabwe nebatandika okumenya ennyumba ssaako nokwonoona ebirime byabwe. Ono agamba nti omusirikale eyabadde adduumira ekikwekweto yamusiseeko essimu bweyabadde agezzaako okukubira omwami we namukuba n’empi bbiri.
Ye omwogezi wa Poliisi owa Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agamba nti buli ekyakoleddwa kyakoleddwa mu mateeka era babadde bateekesa kiragiro kya nsala ya Kkooti Enkulu eyakolebwa nga 28 Feb 2024 eyalaga nti Agaba yesenza ku ttaka lino mu bukyaamu.
Kawala agamba nti Poliisi yaleeteddwa kukuuma mirembe.
Bya James Kamali

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug #