BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

President Museveni yebazizza abalonzi

President Yoweri Museveni avuddeyo neyebaza Bannayuganda olw’okugaana okulonda ab’oludda oluvuganya ne balonda aba NRM mu kulonda kwaba Ssentebe okuwedde.

President Museveni nga ono ye Ssentebe wa NRM yagambye nti mukulonda obukiiko bw’abakyala ku bifo 303,460 NRM yawangulako ebifo 256,100 by’ebitundu 84.5 ku 100, ba Independent bali 27,069 by’ebitundu 8.9 ku 100 nga ate ab’oludda oluvuganya Gavumenti bali 20,291 by’ebitundu 6.6 ku 100.

Ate ku ba Ssentebe ba LCI ku byalo 54,713 ku ebyo 60,774 NRM yawanguddeko ebyalo 37,496 by’ebitundu 69 ku 100, ate ba Independent nebawangula ebyalo 11,685 by’ebitundu 21 ku 100 songa abavuganya gavumenti bo bafunye ebyalo 5,532 by’ebitundu 10 ku 100.

Yavuddeyo nasekerera abo ababadde bakozesa emikutu egyenjawulo omuli TV, Radio, social media wamu n’olupapula lw’amawulire lweyayise Omulabe wa NRM olwa Daily Monitor kuba abalonzi babaswazizza ne balonda NRM.

Yagambabye nti bano bonna nga bawali wamu n’aboludda oluvuganya Gavumenti beyayise abamenyi b’amateeka berabira nti abalonzi si basiru ate ne Katonda abalaba ate nga yagaba.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply