BREAKING NEWS
Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships Observer: Call it what it is: An abduction is not an arrest MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

President Museveni afulumizza ekiwandiiko ku byabaddewo mu Arua

Eri Bannayuganda banange naddala Bazzukulu bange;

Ebiseera ebisinga obungi njagala nnyo okwogera eri Abazzukulu bange kuba njagala nnyo bayigire ku byetuyiseemu emyaka 58. Nkitegeera nti abantu bangi babadde beralikirivu ku bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka okuva mu b’oludda oluvuganya okuli n’ebyo ebyaliwo mu Arua.

Kassiano Wadri Ezati, Kyagulanyi Robert Ssentamu (Bobi Wine) n’abalala abakubye oluseregende lw’emotoka zange okuli neyange, bayasizza endabirwamu y’emu ku motoka zange etambuza emigugu era nga endabirwamu eno si ya bullet proof.

Kiswaza nnyo okubeera n’abantu nga abo abagala okukozesa effujjo wamu n’ebikolwa eby’obukambwe okutiisatiisa Bannayuganda. Teri alina buyinza kutiisatiisa Munnayuganda nga akozesa ebigambo oba ebikolwa.

Kya mukisa abakuumi bange tebakubye masasi mu bantu ababalumbye olw’okuba nti tetwabadde na teargas. Tuba kukozesa maanyi abantu bangi bandifudde kuba tubeera n’amasasi gokka.

Ekirala abawagizi abalala ababadde ku Tinga tinga (Tractor) beyongeddeyo nebakuba abawagizi ba NRM ababadde bava ku Rally. Amayinja gebakasuse galumizza abantu bangi era mu kulwanagana kuno omuntu omu mweyakubiddwa esasi, buno bwabadde bunafu bwa Poliisi olw’okulemererwa okukakanya obujagalalo.

Lwaki mukulemberamu abantu okuyita mu nguudo enfunda? Ekiri mu mateeka bantu kugenda mu nkungaana bweziddwa buli omu nadda ewuwe. Okutambula mu nguudo n’abantu abangi oluvannyuma lw’enkungaana kimenya mateeka kuba kitataganya abantu abakola emirimu gyabwe. Nabwekityo nkubiriza Bannakibiina kya NRM okwewala ebikolwa nga bino.

Abakulembeze bangi babadde bakola ebikolwa ebireetedde abantu okufa nga omu e Bugiri n’omulala mu Arua. Ebikolwa nga bino tetujja kubikiriza era abo bonna abenyigiddemu bajja kubonerezebwa mu mateeka. Era oyo yenna abakungaanya okwenyigira mu bikolwa bino yavunaanyizibwa ku bikiolwa byabwe.

Twagenda mu nsiko kulwanyisa bikolwa nga bino wamu n’okulekera abantu eddembe okwesalirawo mu by’obufuzi nga tewali abatiisatiisa. Oyo yenna abatiisatiisa bwanakwatibwako yenenya nga yekka.

Yoweri Kaguta Museveni

President

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply