Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,213 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Poliisi yekyuusizza ku ky’omusajja gweyagamba nti yakubwa ssasi

July 3, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force evuddeyo nerya ebigambo byayo ku musajja eyafiira mukusengula abantu mu Makindye Division. Poliisi yasooka nevaayo netegeeza nga ono bweyafa essasi wabula oluvannyuma lw’okukola postmotem Poliisi egamba nti ono yafa bisago byeyafuna oluvannyuma lw’ebintu okumusalasala.

Farouk Mutakaya, omutuuze w’e Bwaise II mu Kawempe Division yafa ku lw’okuna ekiro Poliisi bweyali egumbulula abantu beyasanga nga basengula Abdu Mbeera Poliisi kyegamba nti baali bakikola mu bukyaamu.

Poliisi egamba nti oluvannyuma lw’okwekebejja omulambo kyeyolese nti kirabika yali akubiddwa abatuuze abali bagezaako okutaasa mutuuze munaabwe ommumyuuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire.

Kigambibwa nti ekibinja kyabantu abalina ennyondo n’ejjambiya basanigbwa nga bamenya ennyumba ebeera abantu 9 ku biragiro by’omu ku batabani ba Mbeera nga agamba nti ye ettaka yalitunda dda naliguza omusuubuzi w’omu Kampala. Poliisi ye Katwe yakwata emotoka bano byebaali batambuliramu.