Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 182 listening Simba FM Live
News

Poliisi y’ebidduka ekutte emotoka 93 mu Kampala

May 3, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka SP kananura Michael yavuddeyo nategeeza; “Ekitongole kya Poliisi y’ebidduka kyakutte emotoka 93 olunaku lweggulo ku Poliisi ezenjawulo nga; Wandegeya, Katwe, Kabalagala, Kajjansi, Kawempe, Jinja Road, Kiira Division, Kira Road ne CPS.
Emotoka ezakwatiddwa zibadde zirina obugombe bwa Poliisi mu bukyamu, ebitaala byawaggulu, amataala agakyuusiddwamu wamu n’okuvugira ku ludda lwebatalina kuvugirako. Ba ddereeva bagiddwako sitaatimenti era nga balindirira kusimbibwa mu Kkooti bavunaanibwe.
Ebikwekweto byakugedera ddala mu maaso okutuusa ng’emotoka zino zonna zikwatiddwa. Poliisi erabula abagoba b’ebidduka mwenna wamu ne bannannyini motoka ezirina ebintu ebyo waggulu mu bumenyi bw’amateeka okubiggyako mu bwangu nga tezinakwatibwa.”