Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 624 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ye Ttula ekutte abavubuka basatu abenyigira mukumenya amayumba

May 28, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ye Ttula olunaku lwaleero ekutte  abavubuka basatu ku byekuusa kukumenya amayumba nebabba ebintu. IP Dan Ampadde nga ono ye OC wa Ttula Poliisi Post gamba nti batemezeddwako abatuuze era nabo nebasitukiramu nebwakata abavubuka basatu okuli Hassan Muwonge, Rogers Ssekamate amanyiddwa nga Boy ne John Katimbo nga ono ye amanyiddwa nga Young Mulo nga bali mukabinja kaba kifeesi abeyita ba Kasolo Boys abasuza abatuuze be Kawempe ku tebuukye.

Poliisi ezudde ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe mu nnyumba mwebabadde babeera nga muno mulimu TV ya Hisense, Woofer eziwerako, computer bbiri, Fan, Ensawo z’abakazi wamu n’ebiwadiiko ebyenjawulo era nga abantu ab’enjawulo bavuddeyo nebazuula ebintu byabwe ebyali byababibwako.

Era poliisi eyongedde nekizuula nti bano abasatu babade bakateebwa okuva mu kkomera e Luzira emyezi esatu egiyise.

Mu mateeka ga Yuganda omuntu yenna amenya nayingira munnyumba, weema oba ekintu kyonna ekiba kitereddwawo omuntu okubeera guba musango gwakumenya nnyumba era nga singa gukusinga osibibwa emyaka 7.

Ate singa omusango guno oguzza kiro olwo obeera oyolekedde okusibwa emyaka 10 singa guba gukusinze.