BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi y’e Ntinda mu Kampala ekutte omukazi lwakubba bintu

Diana Babirye 28, omutuuze w’e Kitintale akwatiddwa Poliisi lwakubba bintu ebibaririrwamu obukadde 20 okuva mu dduuka lya Tusingwire Peace erisangibwa e Ntinda Kigoowa. Mukukola okunoonyereza Poliisi yasanze ebintu bino ebyabiddwa mu nju ya Diana.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire agamba nti Babirye yakuba plan y’okubba ebintu bya mukwano ggwe byeyawulira nti mukwano ggwe yali akooye eby’edduuka nga anoonya mulimu mulala ogusasula bwatyo nasalawo amuyambe okumusigalira nga wo nga bwanoonya omulimu omulala kumbe nga ayagala kubba.

Kigambibwa nti buli mukwano ggwe bweyagendanga okusisinkana abayinza okumuwa omulimu nga amulekawo omukuumireko nga Babirye afuna akakisa akokesaamu ebisumuluzu by’edduuka.

Poliisi yakoze omuyiggo nekizuula nti essimu ya Babirye yagikozesa mu ssaawa webamanyera edduuka mu kifo edduuka werisangibwa. Ebintu ebiwerako byasangiddwa mu nnyumba ya Babirye e Luzira Kirombe.

Beyabuuziddwa lwaki yabbye mukwano ggwe ennyo yagambye nti omwenge nti gwegwamutabudde omutwe negumuleetera okubba, wamu n’okusera. Wabula yalemeddwa okunnyonyola engeri gyeyatuuka okwokesaamu ebisumuluzo.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply