Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Poliisi y’e Nansana ekutte ababbi ab’emmundu

July 5, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Nansana ekutte Zabron Bakerwa 44 nga ono mutuuze we Gganda Nansana ne banne abalala babiri ku bigambibwa nti babadde benyigira mu bubbi obw’emmundu mu Lubiji Nansana.

Okukwata bano kidiridde abatuuze okwekubira enduulu nti ono ne banne balina emmundu era abatuuze babasuza ku bunkenke era ne Poliisi nesitukiramu bukubirire okukakana nga bano ebakutte n’ebintu ebiwerako omubadde Pistol nnamba B05278, ebiccupuli bya ssente, emmundu enjigirire, n’ebintu ebirala ebikozesebwa mukumenya amayumba.

Zabron annyonyodde nti abadde ye ne banne benyigira mukubba abantu, okumenya emotoka naddala ezo ezibeera zirekeddwa kukubo, okunnyakula obusawo kubatambula wakati wa Nansana ne Lubiji era nga ategezezza nti babadde babikola eyo mu matumbi budde.

Era ono asangiddwa ne form ya Poliisi bond mu maka ge. Ono ne banne babadde baweebwa Police bond nga bavunaanwa omusango gw’obubbi.