Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 332 listening Simba FM Live

Poliisi ye Naggalama ekutte abasajja bana ne Airtime wa MTN ow’ebiccupuli

June 6, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ye Naggalama ekutte Benin Biraaro, Robinson Muheki, Simon Bwambale ne Isaaz Akankwatsa ne Airtime wa MTN nga abalirirwamu obukadde 112.5. Bano poliisi ebadde ebanoonya okumala emyezi 7.

Okunoonyereza kulaga nti bano babadde bakugu mukukuba airtime ow’ebiccupuli era nga babadde bamukubira mu Democratic Republic of Congo (DRC) nebaleeta mu Uganda nga bayita e Kihihi mu Disitulikiti ye Kanungu kilometer 30 okuva ku boarder.

Bano babadde basisinkana nabaguzi nebateesa ku ssente oluvannyuma abaguzi bwebajja okukima airtime bano nebajja nab’emmundu nebababbako ssente.