Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 338 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Poliisi ye Kireka enunudde abaana babiri

May 23, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Kireka olunaku lwaleero enunudde abaana babiri Shakirah Nakabuye 12 asoma ekibiina eky’okutaano ku Nakifuma Church of Uganda Primary School ne Don Kitandwa 2.

Bano bawambiddwa bwebabadde bava mu Clinic, abasajja basatu nebabakwata lwampaka ne babateeka mu motoka ekika kya Raum enzirugavu nebatandika okuvuga nga boolekera Namboole ekyaleetedde abaana bano okutandika okuleekanira waggulu nga basaba babayambe.

Kino kyatiisiza abawambi ababasudde kukubo nebavuga nebadduka. Abantu ababadde okumpi bayise poliisi abagiddewo okutaasa abaana bano.

Bano bagamba nti babeera ne Muganda waabwe ayitibwa Teopista Nalutaya akolera e Bweyogerere.

Poliisi esaba yenna amanyi Ow’oluganda waabwe yenna okumugamba agende e Kireka abakime.