Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi ye Kawempe ekutte neggalira Omuwala omulala olw’okwewamba

May 23, 2018 · Mubiru Ali

Najjim Gonza 27, nga mutunzi wa mmere e Mbikko mu district ye Jinja yagambibwa okwewamba nasaba bazadde be ssente mbu nga ayagala okugaziya business ye.

Najjim yabadde ategese okubulawo n’omwagalwawe Festo Kigomba akolera e Maganjo mu kyuuma mu Kawempe.

Kigomba agamba nti Najjim yamulimbye nti ayagala batandike obulamu obupya babiri era nga ye yabadde takimanyi nti ono yabadde ayagala kwewamba mbu era ye nagenda okukola namuleka ewaka. Gonza yakozesezza akakisa kano nga Festo taliiwo nakubira Maama we nga amusaba obukadde mukaaga nga abamuwambye tebanamutta.

Bazadde be bategezeza poliisi eyatandisa okunoonyereza nga ekozesa essimu ye nemusanga ewa muganzi we e Kawempe nga affumba eky’eggulo.

Maama we ye yabadde azirise era nga aweereddwa ekitanda mu ddwaliiro e Jinja oluvannyuma lw’okuwulira amawulire g’okuwamba muwala we.