Breaking
News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 188 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Poliisi y’e Kakiri ekutte Omusomesa lwakusobya ku muyizi we ow’emyaka 8

July 3, 2018 · Mubiru Ali

Anthony Kayondo nga musomesa e Kakiri akwatiddwa lwakusobya ku muyizi wamyaka 8. Kigambibwa nti Kayondo yasaba bazadde b’omwana ono bamumuwe amuwe coaching ku weekend wabula ate namusobyako.

Kayondo yakwatiddwa abatuuze lubona nga asobya ku mwana ono oluvannyuma lw’okubalaba nga bakyaama mu kasiko ku kyalo Naddangira. Ono yataasiddwa Poliisi ku batuuze ababadde bataamye nga bamubigika emigoba nte.

Ono nga ali ku Poliisi yakiriza mu maaso g’abazadde nti kituufu abadde amukozesa. Ono ali ku Poliisi y’e Kakiri nga bwalindirira okusimbibwa mu maaso g’omulamuzi avunaanibwe ogw’okujjula ebitanajja era nga singa g’omusinga ono ow’emyaka 26 yandisibwa emyaka 18.