Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi y’e Entebe ekutte abagambibwa okubbira ku Express highway

August 12, 2018 · Mubiru Ali

Robert Mugabe aka Richard Twinomujuni aka Airforce, Yasin Shaban ne Twalib Sebaggala bakwatiddwa Poliisi y’e Entebe nga kigambibwa nti bano babadde benyigira mu bubbi ku luguudo lwa Entebe Express highway nga kigambibwa nti bano bateega abalambuzi abaali bagenda ku kisaawe Entebe nebabbako Euro 27,900 n’ebintu ebirala bingi.

Kigambibwa nti nga 27-June-2018 Mugabe nga ayambadde ekyambalo ky’amaggye nga ali wamu n’emikwano gye bateeka Roadblock ku luguudo lwa Entebe Express bayimiriza emotoka ekika kya Prado nebalagira abagirimu okuwaayo buli kyebalina ku mudumu gw’emmundu. Bano oluvannyuma badduka era nebagambana omunyago gwabwe.

Omugoba w’emotoka yadduka mangu nagulawo omusango ku Poliisi y’e Entebbe era bambega baayo nebatandika okubanoonya nga bakozesa Smartphone emu gyebabba. Mukufuuza ennyumba ya Mugabe poliisi yasanzeemu ekyambalo ky’amaggye, pistol engigirire, Driving permit ya Ddereeva wa Prado, National IDs za Bannansi ba Serbia ababibbwa.

Mugabe yakirizza okuweebwa obukadde 25 nga omugabo zeyakozesa okutandika edduuka e Mbararan nagula ettaka wamu ne Piki piki enkadde. Okunoonyereza kulaga nti Mugabe yali musirakale wa UPDF nakwatibwa navunaanibwa mu Unit Disciplinary Court (UDC) lwakudduka mu maggye mu February 2011 nasibwa emyaka ebiri wabula beyavaayo teyawaayo byambalo bye.