poliisi yayokezza ebiragalalagala bya bukadde bwa ddoola 2.8

Poliisi olunaku lw’eggulo yayokezza kiro z’ebiragalalagala nga bibalirirwamu obukadde bwa ddoola 2.8 ku barracks ya Poliisi e Nsambya. Bino byaboyebwa okuva mu mwaka gwa 2015 okutuuka olunaku olwaleero.
Omumyuka wa Inspector General of Police Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi yasiimye nnyo ekitongole ekirwanyisa okukukusa ebiragalalagala wamu n’ebitongole ebirala ebyebyokwerinda olw’omulimu ogw’amaanyi gwebakoze.
Kubyayokeddwa kuliko kiro 68.57 eza heroin, kiro 16.50 za cocaine, kiro 4.0 za methamphetamine, kiro 12.422 za marijuana, kiro 148.46 za cathe edulis.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
enkyuukakyuuka za kuyamba buganda – kattikiro