Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 486 listening Simba FM Live

Poliisi yataasizza omuntu okuva mu kizimbe ekyaggwa e Makindye

September 14, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyimirizza omulimu gwebaddeko okwokutaasa abantu abayinza okuba nga baziikiddwa ekizimbe ekya kalina ekyagudde mu Kalezia Zone e Makindye.
Poliisi egamba nti oluvannyuma lw’okutuuka ku mwaliro ogusookera ddala gwebabagambye nti wabaddeyo abantu 8, tebalina gwebasanzeeyo yadde omulambo era nga Poliisi tenafuna mawulire gonna ag’omuntu eyabuliddwako owuwe.
Abasirikale ba Poliisi babuuzizza abakozi ababadde bakola ku kizimbe kino nga kuno kuliko n’omukyala abadde abafumbira emmere nategeeza nti abakozi bonna babadde banyuse ekizimbe wekyagwiridde okuleka Godfrey Oonyu eyataasibwa ku lunaku olusooka.