poliisi yakutte ababbi ababba obukadde 24 okuva ku ssundiro ly’amafuta

Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu bw’emmundu ekya flying squad e Mbarara kirondodde akabinja k’ababbi abatigomya ebitundu by’e Rwizi ne Greater Bushenyi nga babadde bekukumye mu Nyakaizi cell, Kakooba Divizoni, mu Mbarara Municipality.
Bano wiiki ewedde kigambibwa babba obukadde 24 okuva ku ssundiro ly’amafuta erya Bam petrol station mu Ttawuni y’e Kabwohe mu Disitulikiti y’e Sheema. Aba Flying Squad e Mbarara nga bayambibwako ekibinja okuva e Kampala basse omu ku bazigu bano eyategeerekese nga ye Mbaine Yonasani ow’emyaka 40, nga mutuuze w’e Bushenyi Ishaka.
Ono yasangiddwa n’emmunda ekika kya SMG nnamba UG PSO 340235607221 n’amasasi 2. Era baasobodde okuwakta Nyonyintono Abbey ,Kato Patrick ne Odeke Hussein nga batwaliddwa e Sheema gyebadiza emisango ate ggwo omulambo gwa Mbaine gwatwaliddwa mu ddwaliro lya Mbarara referral Hospital.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Entambula y’ebidduka e Namugongo