Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 228 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi yakola bubi okumenya endabirwamu y’emotoka ya Bobi Wine – HE. Museveni

May 5, 2019 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo n’ekiwandiiko ku kukuba enkungaana, nga agamba nti awakanya abantu abavaayo nebagamba nti Yuganda etandise okugwa ng’abalowooza ekyo bandiba nga sibamazima nga tebamanyi nabigenda mu maaso mu Ggwanga.
Pulezidenti agamba nti alina obujulizi obusobola okwoleka obulungi nga kino bwekitali kituufu. Bwatyo avuddeyo nalabula Bannabyabufuzi wamu ne Bannayuganda abagufudde omugano nga ogw’enswa okwenyigira mu kwekalakaasa wamu n’enseregende ezitali mu mateeka nti bali mu matigga nga basanye balye kamanye nga akoza n’owebbwa.
Agamba nti bano basalawo kwekalakaasiza mu butale, mu ttawuni ezirimu abantu abangi ekireetawo okubuusabuusa oba nga ebigendererwa byabwe ddala bituufu. Pulezidenti ategeezezza nti omuntu yenna okukirizibwa okwekalakaasa alina okubeera n’ensonga eyessimba lwaki akikola era nga afunye n’olukusa.
Pulezidenti era avuddeyo nawakanya enkola Poliisi zeyakozesa okukwata Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ku Easter Monday bweyamenya endabirwamu y’emotoka mweyali okumusikambulamu. Wano Pulezidenti waweeredde Poliisi amagezi nti baali basobola okukozesa kasiringi okusika emotoka eno nga mwali okugitwala wonna webaali baagala okusinga okwasa endabirwamu.