Poliisi yakakwata piki piki 6374

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka ASP Faridah Nampiima; “Tuyingidde olunaku olwokusatu nga tukola ebikwekweto ku bafuzi ba piki piki ngessira tulitadde ku helmet ne reflective jacket.
Piki piki 6,374 zezakakwatibwa okwetoloola eggwanga lyonna mu naku 2 eziyise. Tiketi 4,926 ezengasi zeziweereddwa abavuzi ate piki piki 1,448 zezikyakuumirwa ku Poliisi ezenjawulo.
Ekikwekweto kikyagenda mu maaso, era twagala okwebaza Bannayuganda olwokutuwagira wamu n’abavuzi ba Piki piki abagoberedde ebiragiro.”
Share.

Leave A Reply