Poliisi ya France yakuwerekera evvu ly’omuyimbi Oryema

Mukyala w’omugenzi Geofrey Oryema Omuyimbi ow’erinnya eyafiira e France agamba nti bateekateeka okuzza evvu lye mu Uganda nga bakuumibwa Poliisi ya France.

Kino kize oluvannyuma lw’Olukiiko lw’abataka mu Acholi okulabula ab’ennyumba ya Erinayo Wilson Oryema obutayokya mubiri gwa Oryema oba okuzza evvu singa baba bamwokyeza ku ttaka lya Acholi.

Olukiiko olwakuremberwamu Rwot David Onen Achana II nga ono yemukulembeze ow’ennono owa Acholi agamba nti kino tekikirizibwa era kikyamu mu buwangwa bwa Acholi.

Kino kyaletera Family ya Oryema okuddukira mu Kkooti enkulu e France nga bawakanya ekiraamo kya Oryema mweyagambira nti bookyanga omubiri ggwe wabula omusango negubasinga. Bwebatyo nebagamba nti lwakiri evvu lye literekebwe mu nnyumba ye e Paris mu France wabula Namwandu we nakiwakanya nasaba Poliisi ya France emuwe obukuumi atwale evvu lya Oryema balisasaanye mu Anaka ne Soroti gy’azaalwa nga bweyalaama. in accordance with Oryema’s will.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
aba updf bakutte omusirkale wa traffic amataayi