Breaking
News: Omulondo mbu bwogulya ogejja ekitalabika! Omuwuulu ye musajja ayita ku ndiga ensajja nemulaawa! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa manyumya nebiwooma girindirire buli kiro ku ssaawa nnya. News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Balaam Barugahara Ateenyi alidde matereke nomukulu wessomero.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 438 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi temuba nga muli munteekateeka eggalawo essomero lya NUP – SG Rubongoya

July 6, 2024 · Mubiru Ali
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo ku nsisinkano gyebabaddemu ne Uganda Police Force ku nsonga y’ettendekero lya National Unity Platform School of Leadership; “Mu lukiiko lwetwabaddemu ne Poliisi ku nsonga za National Unity Platform School of Leadership, batubuuzizza lwaki twatandikawo essomoro? Tulina abayizi bameka? Bafuna batya ebifo? Tuluubirira bantu ki? Baani abatuteekamu ssente? Basomera bbanga ki? N’ekikulu mu byonna, kiki kyetusomesa.
Batutegeezezza nti okutuyita kyavudde ku mawulire gebafunye nti essomero lino litendeka abantu okukozesa obuvuyo n’obukodyo obulala obuyamba okusuula Gavumenti nga tusinziira ku byakolebwa oba ebikolebwa mu Mawanga amalala! Twakittaanyizza nti lino ttabi lya kibiina kyetutendekera Abakulembeze ab’enjawulo ku nsonga ezikwatagana n’obukulembeze.
Batutegeezezza nti bakugenda mu maaso n’okulondoola emirimu gy’essomero lino era nga kino tetukirinaako buzibu bwonna kuba tukolera mu mateeka.
Twawakanyizza ne ssekuwakanya ekiragiro kyokuwaayo ebigenda okusomesebwa wamu nababa bagenda okubisomesa buli wiiki eri DPC wa Kira Road! Twakomekerezza nga tubategeeza nti katusuubire nti kano sikakodyo kebaliko okwagala okuggalawo essomero.”