Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 216 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi mu Kampala ekutte Piki piki 489

March 26, 2020 · Mubiru Ali

Kampala Metropolitan Police olunaku olwaleero ekoze ekikwekweto okutekesa ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekyokuyimiriza entambula zonna ez’olukale ku nguudo ez’enjawulo eziyingira ekibuga Kampala era nga weziweredde essaawa kumi ez’olweggulo lwaleero nga bakutte emotoka 171 nga ezisinga takisi, Piki piki 489 n’abantu 10. Abantu abakwatiddwa bakambuwalidde abasirikale ba Uganda Police Force ababadde ku mirimu.Abantu abalala 14 bakwatiddwa okuva mu Container Village lwakugezaako kubba bintu ku motoka ku Burton Street. Bano bagezezaako okudduka Poliisi nebakwatira mu Container Village nga kati bakuumirwa ku CPS.