Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 132 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Poliisi mu Kampala ekutte abasajja babiri abakyuusa IMEI Number z’amasimu

July 2, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweto mwekwatidde abasajja babiri abagambibwa okwenyigira mu kukyuusa International Mobile Equipment Identity (IMEI) (Serial number) z’amasimu agebbeeyi agabibwa mu kibuga. International Mobile Equipment Identity (IMEI) (Serial number) z’amasimu ziyamba mukunoonya amasimu agaba gabiddwa.

Meseal Nkuubi ne Joseph Nsumba nga bonna bakoma mu S.6 babadde bakola omulimu guno nga beyambisa ebyuuma bikkalimagezi okukyuusa amasimu agaba gabiddwa. Kigambibwa nti ekyuuma kino ekikyuusa serial number bakigula ku mukutu ogwa e Bay ogutundu ebintu ku internet ne bafuna ne buvidiyo obusomesa enkola yaakyo okuva ku mukutu gwa YouTube.

Bano babadde bakolagana n’ekibinja ky’ababbi ba masimu mu Kampala n’emiriraano nga era bakola endagaano nabo nti kubuli ssimu gyebakyuusa bafunako ebitundu 23 ku 100 (23%). Bano basangiddwa n’amasimu n’ebintu ebirala bingi. Bano bakuumirwa ku CPS mu Kampala nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.