Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi mu Arua ezudde emmundu eyabibwa mu kkomera ly’e Lobule

Uganda Police Force mu Arua avuddeyo netegeeza nga bwezudde emmundu ekika kya SMG nnamba UG POL 48002035 wamu n’amasasi 9 ezuuliddwa ku luguudo lwa Arua Vurra Custom okuliraana ensalo ya DR Congo mu ggombolola y’e Vura mu Disitulikiti y’e Arua.

Emmundu eyogerwako yemu ku mmundu ezabibwa okuva mu kkomera ly’e Lobule mu Disitulikiti y’e Koboko omwezi mulamba oguyise.

Abantu babiri bebakwatiddwa n’emmundu eno nga babadde batambulira ku Piki piki nga boolekera Vurra Custom mu budde bwa curfew. Bano bwebalabye abasirikale ba Poliisi wamu n’abeggye lya UPDF nebasuula ensawo ezirugavu omwabadde emmundu nebeggyawo. Poliisi yagezezaako okubagoba wabula ne balemererwa.

SP Angucia Josephine

PRO West Nile/North West Nile regions.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort