Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Poliisi ezudde emotoka 20 enzibe

November 15, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ekutte abantu 16 nezuula n’emotoka 20 ne Piki piki 2 ezabbibwa nga abantu beteekerateekera ebikkujuko bya Ssekukulu. Zino zezimu ku motoka ezibbibwa mu bitundu eby’enjawulo nezitwalibwa e Mbale, Busia ne Kenya.

Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu bye Iganga, Mbale, Ebuvanjuba wamu ne mu Kampala. E Mbale Poliisi yazuddeyo emotoka 6 era nekwata yo abantu 4, e Iganga yazuddeyo 3, n’emotoka endala 4 okuva e Mbale era nekwata abantu 4.

Mu Kampala ekiro nga 8 November 2018, Poliisi yazuula emotoka 8 era nekwata n’abantu 8 ku bikwatagana n’obubbi. E Luwero Poliisi yakutteyo abantu abalala 2 ku bikwatagana n’okubba emotoka.