POLIISI EZUDDE EMMUNDU EYAKOZESEBWA MU BUBBI E NAKITOTOLO

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kakiri mu Disitulikiti y’e Wakiso wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuzigu mu Poliisi ekya Flying Squad Unit bazudde emmundu mu kisoko ku kyalo Kyanuuna, Namayumba Town Council ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima.
Okuzuula emmundu eno kidiridde obubbi obwawabibwa ku Poliisi y’e Kakiri nga 19-3-2021.
Kigambibwa nti ku ssaawa nga nnya ez’ekiro Ssentebe wa LC1 ow’ekyalo Nakitotolo, yategeezeddwa nti Issah Mugarura 35, nga musuubuzi era omutuuze w’ekitundu kyekimu yali alumbiddwa abasajja 3 nga babagalidde omugemerawala.
Mugarura yakubwa essasi mu kugulu kwa ddyo nebakuliita ne piki piki bbiri n’essimu ekika kya Techno smart phone 1.
Piki piki oluvannyuma babagoba nebabasuuza Piki piki zebaali babbye. Yo Poliisi ye Namayumba mukwanukula yabasuuza Piki piki nnamba UEQ 611E. Poliisi yakolagana n’ebitongole ebivunaanyizibwa kukuwandiisa ebidduka okuzuula nnanyini piki piki eyasuulibwa ababbi era abantu abawerako nebakwatibwa omwali ne Isaac Kigozi.
Kigozi yategeeza Poliisi nti Denis Ssekimbe yeyali aterese emmundu gyegakozesa mu bubbi nti era yeyakuba Mugarura essasi.
Ssekimbe yeyatutte DPC w’e Kakiri wamu ne Flying Squad gyeyali akwese emmundu.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply