Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 542 listening Simba FM Live

Poliisi ezudde emirambo 2 mu mwala gw’e Nakivubo

September 11, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo neteggeza nga bwezudde emirambo ebiri mu mwala gwa Nakivubo ku Clock Tower okuliraana essundiro lya Total oluvannyuma lw’enkuba etonnye olwaleero.
Emirambo gino gireeteddwa amazzi okuva mu bitundu eby’enjawulo nga kuliko omwana omuwala wamyaka 12 nga ategeerekese nti ye Namazzi Alyera, omutuuze w’e Nsambya Kitooro, Makindye Division. Kigambibwa nti Namazzi abadde azannya ne mikwano gye mu nkuba, omupiira gwabwe neguggwa mu mwala bwagezezaako okuggyayo amazzi negumutwala okutuuka ku Clock Tower owa Booda booda wagulabidde nategeeza Poliisi.
Omulambo omulala gwa musajja mukulu atanategeerekeka.