Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Poliisi eyogedde ku bubbi obwaliwo e Masaka

July 24, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi eri mukukola okunoonyereza ku bubbi obwaliwo nga 1-July-2018 ku Moses K Hardware e Masaka. Mububbi buno omusirikale wa UPDF reserve force Moses Musinguzi yattibwa n’emmunud ye eyali amasasi 30 nebibbwa wamu n’okulumya Shafique Kiggundu naye n’afa nga yakatuusibwa mu ddwaliro lya Masaka Referral Hospital.

Kigambibwa nti ensimbi eziwerera ddala UGX. 435,705,500/= Β era nga Poliisi mukunoonyereza ku bifaananyi bya CCTV Poliisi yasobodde okuzuula Wakube James ono nga yeyita Imran ng’amutuuze w’e Busega mu Rubaga. Abamu kubenyigira mu bubbi buno bakwatibwa okuli Tweheyo Julius ne Kankaka Gerevazio amanyiddwanga Kojja nga bakwatibwa kuva Ntungamo.

Tweheyo yasangibwa n’obukadde ana (40,000,000) wamu n’emotoka ekika kya Premio esuubirwa okuba nga yagigula kuzimu ku ssente ezo. Abalala okuli Wakube James aka Imran, ne Kayemba nga erinnya ery’okubiri terinamanyibwa Poliisi ekyabanoonya.